The Book of Common Prayer | |||||||
|
|
OKUSABA ENKYA MU BĀNA
ABATO
[SERVICE BOOK IN LUGANDA.]
SOCIETY FOR PROMOTING CHRISTIAN KNOWLEDGE, LONDON: NORTHUMBERLAND AVENUE, W.C. 1900
CONTENTS. Opening Prayer
|
|
||
EKYOKUSABA EKISOKERWAKO. BADEMU BONA WAMU. AI Katonda owekisa, nzize mu kifo kino okuwulira nokuiga Ekigambokyo. Ai Mukama wange,
onjigirize. Omwoyogwo Omutukuvu anung’amye mu
mazimago, ankumenga mu kubo eryobulamu, kubwa Isa Masiya Omulokozi wange. Amina. |
Opening Prayer | ||
OLUIMBA OLUSOKERWAKO. Muyuze emitima gyamwe, so si byambalo byamwe, mukyukire Mukama Katonda wamwe: kubanga wa kisa era asasira nyo, tayanguwa kusunguwala, akwatibwa nyo ekisa, era akyuka obutaleta bubi. Yo. 2. 13. Nagolokoka, ning’enda eri kitange, nimugamba nti Kitange, nyononye mu maso gegulu no mu masogo, so sikyasana nate kuitibwa mwanawo. Luk. 15. 18, 19. ¶ Okwatula kwabantu bona okwogererwa awamu nga bagobereru Omusabisa, bona nga bafukamide. Ai Kitafe Omuinza webintu byona, era owekisa ekingi: Twakyama okuva mu makubogo ngendiga ezibula; Twagoberera nyo okulowoza nokwegomba ebyemitinia gyafe; Twagana okuwulira amatekago amatukuvu; Twaleka ebyatugwanira okukola: Netukola ebitatugwanira kukola; Songa nobulamu tebuli mufe. Naye gwe, ai Mukama wafe, otudiremu fe abanaku abalina ebibi. Ai Katonda, obasasire abatula okwonona kwabwe. Oba’ze ababonerede; Nga bwewasubiza abantu bona kubwa Masiya Isa Mukama wafe. Ai Kitafe owekisa ekingi, era otubere kubwoyo, Okutanula lero okwegendereza, Nga tukutya gwe, era nga tukola ebyobutukirivu, Erinyalyo etukuvu litenderezebwe. Amina. TUSABE. Ai Katonda, nanyini kusasira nokusonyiwa, kiriza ebyo byetwegairide
nobuwombefu; nafe newakubade ngebibi byafe bitusibide dala ngolujegere,
naye olwokusasirakwo nekisakyo ekingi otusumulule; olwekitibwa kya Isa
Masiya Omutabaganya era Omuwolereza wafe. Amina. |
Morning Prayer (abbreviated) | ||
Kitafe ali mu gulu, Erinyalyo litukuzibwe. Obwakabakabwo buje. Byoyagala babikole munsi, nga bwebabikola mu gulu. Otuwe lero emere yafe eya lero. Otusonyiwe okwonona kwafe, nga fe bwetubasonyiwa abatwonona. Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole mu bubi. Kubanga obwakabaka, nobuinza, nekitibwa, bye bibyo, emirembe nemirembe. Amina. Ai Mukama wafe, otwasamye emimwa gyafe. Okudamu. Akamwa kafe nekalyoka kogera amatendogo. ¶ Bona nebalyoka maimirira Omukade nayogera nti Ekitibwa kibe eri Kitafe, neri Omwana; neri Omwoyo Omutukuvu. Okudamu. Nga bwekyali oluberyeberye, bwekiri ne kakano, bwekiriba; emirembe nemirembe. Amina. Omukade. Mutendereze Mukama wafe. Okudamu. Erinya lya Mukama wafe balitendereze. |
Lord's Prayer | ||
VENITE, EXULTEMUS DOMINO. Zabuli 95. Muje, tumuimbi- | re Mu- | kama: tusanyukire olwazi lwobu- | loko- | zi bwa- | fe. Tuje mu masoge no- | kweba- | za: tumusanyu- | kire | ne Za- | buli. Kubanga Mukama ye Katonda | Omu- | kulu: era Kabaka omukulu, asinga | baka- | tonda bo- | na. Enkonko zensi ziri mu mu- | kono- | gwe: nentiiko ze- | nsozi na- | zo zi- ze. Enyanja yiye, era | ye yagi- | kola: emikonogye negi- | bumba o- | luka- | lu. Muje, tusinze, tu- | vuna- | me: tufukamirire Mukama | Omu- | tonzi | wafe. Kubanga ye Ka- | tonda | wafe: nafe tuli bantu bedundirolye, era tuli ndiga, | za mu mu- | kono- | gwe. Lero, obanga munawulira edobozirye, temukaka-nyaza mi- | tima | gyamwe: nga Emeriba, nga ku lunaku Olwe- | masa | mu lu- | kola. Bajaja bamwe | bweba- | nkema: nebangeza, nebalaba | emi- | rimu | gyange. Emyaka amakumi ana nanakuwalira abemi- | rembe | giri: ning’amba nti be bantu abakyama mu mitima gyabwe, so tebana- | manya ma- | kubo | gange. Kyenava ndaira, | nobu- | sungu: nti tebaliingira mu ku- | wumu- | la kwa- | nge. Ekitibwa kibe eri Kitafe, neri O- | mwana: neri Omwoyo | Omu- tuku- | vu. Nga bwekyali oluberyeberye, bwekiri ne kakano, | bweki- | riba: emirembe nemi- | rembe. | Ami- | na. ¶ Nebalyoka
nasoma nedobozi eriwulikika obulungi ekitundu ekosomebwa ekyoluberyeberye,
ekigyibwa mu Ndagana Eyeda. TE DEUM LAUDAMUS. Tukutendereza, | ai Ka- | tonda: twatu- | la nga | gwe Mu- | kama. Ensi zona | zikwe- | yanza: Ki- | tafe a- | tagwa- | wo. Gwe bakukowola Bamalai- | ka bo- | na: Egulu, Namanyi | gona a- | gali- | mu. Gwe bakukowola | buli- | jo: Bakerubi | ne Ba- | sera- | fi. Omutukuvu, Omutukuvu, Omu- | tuku- | vu: Mu-kama, Ka- | tonda o- | wogye | lyona. Egulu nensi | biju- | de: obukudu o- | bweki- | tibwa- | kyo. Abomulundi ogwekitibwa O- | gwaba- | tume: ba- | kute- | ndere- | za. Abekibina ekirungi e- | kya Ba- | nabi: ba- | kute- | ndere- | za. Egye edungi Eryaba- | juli- | rwa: ba- | kute- | ndere- | za. Ekanisa entukuvu eri mu- | nsi zo- | na: e- | kwa- — | — tu- | la. Kitafe alina obukulu o- | buta- | koma: Omwa-nawe omu yeka, oweki- | tibwa o- | wama- | zima. Era Nomwoyo Omu- | tuku- | vu: O- | mu — | sa- nyu- | sa. Gwe Kabaka o- | weki- | tibwa: ai | — Ma- | si — | ya. Gwe | wa Ki- | tawo: Omwana | wolu- | bere- | ra. Bwewakiriza oku- | lokola a- | bantu: tewanyoma lu- | buto | lwa mu- | wala. Bwewawangula okubalagala | kwolu- | mbe: wabagulirawo abakiriza bona Obwaka- | baka O- | bwomu- | gulu. Gwotude ku mukono ogwadyo o- | gwa Ka- | tonda: mu ki- | tibwa | kya Ki- | tawo. Tukiriza | ngoli- | ja: okuba Omu- | lamu- | zi wa- | fe. Kyetuva tukwegairira okubera a- | badu- | bo; bewanunula nomusaigwo o- | gwomu- | wendo o- | mungi, Obabalire ku muwendo ogwaba- | tukuvu- | bo: mu kitibwa | eki- | tagwa- | wo. Ai Mukama wafe, lokola a- | bantu- | bo: obawe omukisa | obu- | sika- | bwo. Obafuge oba- | gulu- | mize: emi- | renibe | nemi- | rembe. Bulijo | buli- | jo: tu- | kute- | ndere- | za. Nerinyalyo | tuli- | sinza: emirembe | egi- | ta- gwa- | wo. Kiriza, ai Mu- | kama | wafe: okutukuma lero, tuleme o- | kukola | ebi- | bi. Ai Mu- | kama | wafe: tudire- | mu tu- | dire- | mu. Ai Mukama wafe, ekisakyo kitu- | tuke- | ko: nga fe | bwetu- | kwesi- | ga. Ai Mukama wange, | nkwesi- | ze: ensonyi zireme okunkwatu, emi- | rembe | nemi- | rembe. ¶ Nebalyoka basoma ekitundu ekisomebwa ekyokubiri, ekigyibwa mu Ndagano Empya. ¶ Nebalyoka
baimba oba nebogera Okukiriza Kwabatume, Omusabisa, nabantu wamu nga
baimiride. |
|||
Nzikiriza Katonda Kitafe Omuinza webintu
byona, Omutonzi wegulu Nensi; Ne Isa Masiya Omwanawe omu yeka Mukama
wafe, Eyazalibwa omuwala atamanyi musaja Malyamu, eyali olubuto Olwomwoyo
Omutukuvu. Nabonyabonyezebwa ku mirembe gya Pontio Pirato; Nakomererwa
ku musalaba; Nafa; Nazikibwa; Naka Emagombe mu bafu; Olunaku olwokusatu
nazukira mu bafu, Nagenda mu gulu; Atude ku mukono ogwadyo ogwa Katonda
Kitafe Omuinza webintu byona; Naye alivayo okukomawo okusala omusango
gwabalamu nabafu. ¶ Nebalyoka basaba bwebati, bona nga bafukamide nobuwombefu; Omusabisa ngasoka okwoyera nedobozi dene nti Mukama wafe abere namwe. Ai Mukama wafe, tusasire. ¶ Soma wano Esāla eyolunaku gundi. Ekyokusaba ekyokubiri, kye kisaba emirembe. Ai Katonda, aleta emirembe ayagala abantu okutabagana wamu, okumanya gwe bwe bulamu obutagwawo, nabadubo be balina edembe dala; Fe abadubo abawombefu, tuzibire eri abalabe bafe buli webatulumbira; fe nga twesigira dala okuzibirakwo, tuleme okutya amanyi gona agabalabe bafe, olwobuinza bwa Isa Masiya Mukama wafe. Amina. Ekyokusaba ekyokusatu, kye kisaba ekisa. Ai Mukama wafe, Kitafe owomugulu, Katonda Omuinza webintu byona atagwawo, gwatutusi’za nga tuli balamu ku lunaku luno werusokera; Lero tuzibire namanyigo; tubere tuleme okwonona lero, newakubade okuingira mu kabi kona; naye buli kyetukola, kirung’amye mu kufugakwo tukole bulijo ebiri mu masogo ebyobutukirivu; kubwa Isa Masiya Mukama wafe. Amina. OLUIMBA OLWOKUBIRI. |
Apostles' Creed | ||
LITANI. [Litany] AI Obusatu Obutukuvu, obutenderezebwa obwekitibwa, Baperesona basatu era Katonda omu: otusasire fe abanaku abalina ebibi. Ai Obusatu Obutukuvu, obutenderezebwa obwekitibwa, Baperesona basatu era Katonda omu: otusasire fe abanaku abalina ebibi. Tulokole mu bubi bwona ne mu katali; ne mu kwonona ne munkwe za Setani, nokulumbakwe; ne mu busungubwo, nokukolimirwa okwemirembe nemirembe, Mukama wafe omulungi, otulokole. Olwokutwalakwo omubiri okutukuvu okutategerekeka; nolwokuzalibwakwo okutukuvu nokukomolebwa; nolwokubatizibwakwo nokusiba nokukemebwa, Mukama wafe omulungi, otulokole. Olwokubonyabouyezebwakwo nentuyuzo ezomusai; nolwomusalabagwo nolwobulumibwo; nolwokufakwo okwomuwendo omungi nokuzikibwakwo; nolwokuzukirakwo okwekitibwa nokugenda mu gulu; nolwokuja Kwomwoyo Omutukuvu, Mukama wafe omulungi, otulokole. Okirize okumukuma nokumuwa amanyi omuduwo kabaka wafe, DAUDI, akusinze amazima, abere nobutukirivu nobutukuvu; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okufuga omutimagwe, akukirize, akutye, akwagale, akwesige bulijo, agoberere ekitibwakyo notendolyo enakuze zona; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okubawa omukisa Namasole, Lubuga, abalangira, nabambeja, ne baganda ba kabaka bona; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okwakira Abalabirizi, Nabakade, Nabawereza, bamanyire dala Ekigambokyo, bakitegere; bakyolese nebigambo byebaigiriza era nebyebakola; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okutuwa omutima ogukwagala, ogukutya, tunyikire okuwulira amatekago; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okuzibira, nokubera, nokusanyusa abantu bona abali mu kabi ne mu naku ne mu kubonyabonyezebwa; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okukuma bona abatambula ku lukalu ne ku nyanja, abakazi bona abalumwa okuzala, abalwade nabana abato bona; nokubasasira abasibe nabanyage bona; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okukuma abana abafuzi, ne banamwandu bona, ne bona abafiridwa nabajogebwa; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okusonyiwa abatukyawa, nabatuiganya, nabatuwairiza, nokukyusa emitima gyabwe; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Okirize okutuwa, nokututerekera emere enungi eyensi, tulyoke tugirye ngeyengede; Ai Mukama wafe omulungi, tukwegairide otuwulire. Omwana wa Katonda; tukwegairide otuwulire. Omwana wa Katonda; tukwegairide otuwulire. Ai Omwana gwendiga owa Katonda; agyawo ebibi Byensi; Otuwe emirembegyo. Ai Omwana gwendiga owa Katonda; agyawo ebibi Byensi; Otusasire. Ekitibwa kibe eri Kitafe, neri Omwana: neri Omwoyo Omutukuvu. Nga bwekyali oluberyeberye,
bwekiri ne kakano, bwekiriba: emirembe nemirembe. Amina. |
|||
EKYOKWEBAZA. ¶ Ekyokwebaza ekyabantu bona. Ai Katonda Omuinza webintu byona, Kitafe owekisa kyona, fe abadubo abatasana
tukwebaza nobuwombefu namazima, olwobulungibwo bwona nekisakyo kyewatuwa
fe nabantu bona; [*era okusingawo olwabo abagala kakano okukuwa sadaka
eyokutendereza nokwebaza olwokusasira kwewabalaga.] Tukutenderoza kubanga
watutonda, notukuma, nolwemikisa gyona egyomunsi muno; nayo okusinga
enyo, kubanga wanunula Ensi zona, mu kwagalakwo okutasingika, kubwa Mukama
wafe Isa Masiya; tukutendereza olwebyo ebituwesa ekisakyo era nolwokusubira
ekitibwakyo. Era tukwegairira otuwe okutegera okusasirakwo kwona bwekuli,
emitima gyafe gikwebaze amazima, twolese otendolyo, mu bigambo byafe
byetwogera era naye mwebyo byetukola; tweweyo okukuwerezanga, tutambulire
mu masogo nobutukuvu nobutukirivu, enaku zafe zona; kubwa Isa Masiya,
Mukama wafe; awerwe wamu nawe Nomwoyo Omutukuvu, ekitibwa kyona netendo
lyona, emirembo egitakoma. Amina. |
|||
Ekyokusaba ekya Kirusositomu. Ai Katonda Omuinza webintu byona, atuwade ekisa kakano okusaba fena mu masogo nememe emu; eyasubiza, webabanga babiri obanga basatu nga bakung’anye wamu mu Linyalyo, okubawa byebasaba. Ai Mukama wafe, kiriza kakano okutuwa byetwagala nebyetwegairira, nga bwebiritusanira; tuwe munsi muno okumanya ainazimago, ne mu bwakabakabwo obugenda okuja tuwe obulamu obutsigwawo. Amina. 2 Kol. 13. 14. Ekisa kya Mukama wafe Isa Masiya, nokwagala kwa Katonda, nokusekimu Kwomwoyo Omutukuvu, bibere nafe fena, emirembe egitagwawo. Amina. OLUIMBA OLKWOKUSATU. |
Prayer of St. Chrysostom | ||
TUSABE. [Prayer and Blessing] Ekyokusaba nga bagenda okubulira. Ai Katonda, kubanga tetuinza kusimibwa gwe wabula nga gwotubede; okirize olwekisakyo Omwoyogwo Omutukuvu alung’amye emitima gyafe agifuge mu bigambo byona; kubwa Isa Masiya Mukama wafe. Amina. OKUBULIRA. OLUIMBA OLWOKUNA ¶ Bwebabanga baimba oluimba luno nebakung’anya ebirabo ebya abantu. Ebyokusaba ebimalirwako. Tuwe, tukwegairide, Katonda Omuinza webintu byona, ebigambo byetuwulide lero namatu gafe kungulu bisigibwe bwebityo mu mitima gyafe munda olwekisakyo, bibalire mufe ebibala ebyempisa enungi, Erinyalyo ligulumizibwe litenderezebwe; kubwa Isa Masiya Mukama wafe. Amina. Mukama atuwe omukisa, atukume; Mukama atwakize amasoge, atukwatirwe ekisa. Mukama atuimusize obwenyibwe, atuwe emirembe, kakano nenaku zona. Amina. |
Web author: Charles Wohlers | U. S. England Scotland Ireland Wales Canada World |